Ebifa ku muzimu



Yüklə 278,31 Kb.
səhifə1/3
tarix26.10.2017
ölçüsü278,31 Kb.
#6564
  1   2   3

1436

EBIFA KU MUZIMU

اللوغاندية <- LUGANDA- Oluganda >

KYAWANDIIKIBWA:

SHEIKH: NUUH UTHMAAN KIBUUKA



KYEKENNENYEZEDDWA:



FAROOQ ABDULNOOR NTANDA

ما يتعلق بالقرين





اسم المؤلف:

الشيخ: نوح عثمان كيبوكا



مراجعة: فاروق عبدالنور انتاندا



EBIRI MUNDA

OLUPAPULA

OMUTWE

NO

2

ENNYANJULA

1

4

LWAKI NAWANDIIKA KU MUZIMU

2

6

OMUZIMU KYE KKI?

3

11

OBUJULIZI OBULAGA NTI BULI MUNTU ALIKO OMUZIMU

4

12

OMUZIMU GUSOBOLA OKUSIRAMUKA?

5

17

OMUZIMU GWEKUUMIRA NNYO MU LULYO LW'OMUFU

6

20

EMIZIMU GYEKUUMIRA NNYO KU BISIGALIRA BY’OMUFU

7

21

OKUTUULA KU MALIBA G’EBISOLO EBIKAMBWE TEKIKKIRIZIBWA

8

24

OKUKWATA OMUZIMU GW'OMUNTU

9

27

OMUZIMU OKULULUMA

10

30

ENSIBUKO Y’OBUTASINZA ALLAH KWALI KUSINZA MIZIMU

11

35

ABASIRAAMU ABAMU BASINZA EMIZIMU N'AMAJIINI

12

38

OMUZIMU NAGWO GUFA

13

42

OMUZIMU SSI GWE MWOYO

14

46

ENJAWULO WAKATI W’EJJIINI N’OMUZIMU (QARIINU)

15

49

ENDOOTO EZIMU ZIYITA KU MIZIMU

16

53

OKUMALIRIZA

17

54

EBITABO EBIRALA EBY’OMUWANDIISI

18







19





































ENNYANJULA

"إِنَّ الْحَمْدَ للهِ نَحْمَدُهُ وَنَسْتَعِيْنُهُ وَنَسْتَغْفِرُهُ، وَنَعُوْذُ بِاللهِ مِنْ شُرُوْرِ أَنْفُسَنَا وَسَيِّئَاتِ أَعْمَالِنَا، مَنْ يَهْدِهِ الله فَلاَ مُضِلَّ لَهُ، وَمَنْ يُضْلِلْ فَلاَ هَادِيَ لَهُ، وَأَشْهَدُ أَنْ لاَ إِلهَ إِلاَّ الله، وَحْدَهُ لاَ شَرِيْكَ لَهُ ، وَأَشْهَدُ أَنَّ مُحَمَّدًا عَبْدُهُ وَرَسُوْلُهُ".

“Ebitendo byonna ebirungi bya Allah, tumutendereza ne tumusaba okutuyamba, tumusaba okutusonyiwa era tumusaba atuwonye obubi bw’emitima gyaffe n’obubi bw’ebikolwa byaffe. Oyo yenna Allah gw’aba alungamizza teri asobola kumubuza, era gw’aba abuzizza teri asobola kumulungamya. Nkakasa (mu mutima gwange era ne njatuza n’olulimi lwange), nti (mu biriwo byonna) teri kisinzibwa (mu butuufu) okujjako Allah yekka atalina kimugattibwako, era nkakasa (mu mutima gwange) nti Muhammad (yali) muddu we era Mubaka we”.



"يَاأَيُّهَاالَّذِيْنَ ءَامَنُوْا اتَّقُوْااللَّهَ حَقَّ تُقأتِهِ وَلاَتَمُوْتُنَّ إِلَّاوَاَنْتُمْ مُّسْلِمُوْنَ".(سورة آلُ عمران:۱۰۲ ).

“Abange mmwe Abakkiriza, mutye Allah mu butuufu bw’okumutya, temutuukibwangako okufa okujjako nga muli Basiraamu”. (Suurat al-Im’raan: Aya 102).



"يَا أَيُّهَا النَّاسُ اتَّقُوْا رَبَّكُمْ الَّذِيْ خَلَقَكُمْ مِنْ نَفْسٍ وَاحِدَةٍ وَخَلَقَ مِنْهَا زَوْجَهَا وَبَثَّ مِنْهُمَا رِجَالاً كَثِيْرًا وَنِسَاءً، وَاتَّقُوْا الله الَّذِيْ تَسَائَلُوْنَ بِهِ وَالأَرْحَامَ إِنَّ الله كَانَ عَلَيْكُمْ رَقِيْبًا".(سورة النساء: آية ۱).

“Abange mmwe abantu, mutye Katonda wammwe oyo eyabatonda ng’abajja mu mwoyo ogumu, era mwe yatonda mukyala waagwo, n’azaalukusa okuva mu gyo (gyombi) abasajja bangi n’abakyala. Mutye Allah oyo gwe musabiragana ku lulwe, Allah kuva dda nga mutunuulizi gye muli”. (Suurat al-Nisaa-i : Aya1).



"يَا أَيُّهَا الَّذِيْنَ ءَامَنُوْا اتَّقُوْا الله وَقُوْلُوْا قَوْلاً سَدِيْدًا يُصْلِحْ لَكُمْ أَعْمَالَكُمْ وَيَغْفِرْ لَكُمْ ذُنُوْبَكُمْ وَمَنْ يُطِعِ الله وَرَسُوْلَهُ فَقَدْ فَازَ فَوْزًا عَظِيْمًا".(سورة الأحزاب: آية ٧۰٧۱).

“Abange mwe abakkiriza, mutye Allah era mwogerenga bigambo bituufu, (Allah) abalongooseze emirimu gyammwe era abasonyiwe ebibi byammwe, oyo yenna agondera Allah n’Omubaka we, aba yeesimye olw’esiima lunene”. (Suurat al-Ah’zaab: 70-71).



أَمَّا بَعْدُ :"فَإِنَّ خَيْرَ الْحَدِيْثِ كِتَابُ اللهِ، وَخَيْرَ الْهَدْيِ هَدْيُ مُحَمَّدٍ صَلَّى الله عَلَيْهِ وَسَلَّمَ، وَشَرَّ الأُمُوْرِ مُحْدَثَاتُهَا، وَكُلَّ مُحْدَثَةٍ بِدْعَةٌ، وَكُلَّ بِدْعَةٍ ضَلاَلَةٌ، وَكُلَّ ضَلاَلَةٍ فِي النَّارِ" .

“Ebigambo ebisinga okuba ebituufu kitabo kya Allah, obulungamu obusinga okuba obulungi bulungamu bwa Muhammad (swalla Llaahu alaihi wasallama). Ebintu ebisinga okuba ebibi by’ebizuule (mu ddiini), buli kizuule kyonna kiba kigunje, ate buli kigunje kiba kya bubuze, ate nga buli kya bubuze kya muliro”.


(Ebigambo ebyo bye nzivuunudde mu Luganda era bye nfudde ennyanjula y’ekitabo kino, by’ebigambo Nabbi Muhammad (swalla Llaahu alaihi wasallama) bye yagguzangawo okubuulira kwe, wabula tebikola ku kuwoowa kwokka).

LWAKI NAWANDIIKA KU MUZIMU?

Omuzimu kitondde mu bitonde bya Allah nga ebitonde ebirala. Wabula olw'okuba abantu tebagutegeera bulungi, kyabatuusa okugwa mu nsobi zino wammanga:




  1. Okulowooza nti omuzimu gwe mwoyo gw'omuntu (naddala Abaganda).

  2. Okulowooza nti omuntu bw'afa omuzimu gwe gubeera Ttanda (mu Ssingo).

  3. Okulowooza nti omuzimu tegufa.

  4. Okulowooza nti wateekeddwa okubaawo enkolagana wakati w'abantu nagwo (naddala ab'ekika ekimu nagwo).

  5. Okulowooza nti gumala ebizibu ebiba mu kika.

  6. Okulowooza nti emizimu gyonna Mikaafiiri!

  7. Okulowooza nti mwoyo mutukuvu alinnya ku mitwe gy'abantu!

  8. Okulaga ‘Abasiraamu’ nti okuleeta ‘zikiri‘ n’ofuna jazbah oba olinnyiddwa majiini. Soma ku mutwe ‘Abasiraamu abamu basinza emizimu’ mu kitabo kino.

Ebintu ebyo nga bwe mbimenye waggulu, ddala abantu bangi bwe batyo bwe babitwala omuli n'Abasiraamu abamu.

Akabi akali mu kulowooza nti omuzimu gwe mwoyo, kwe kuba nti kiviirako abantu okulowooza nti teriiyo kuzuukira era teriiyo muliro na Jjana. Anti baba balaba nga omuzimu (bbo gwe batwala nti gwe mwoyo), omuntu bw'afa gubeera ku byagwo, so ssi mu Jjana yadde mu muliro nga Allah bw'akyogerako.

Mu ngeri y'emu okulowooza nti omuntu bw'afa omuzimu gwe gubeera Ttanda, kiba kimenyawo ekimanyikiddwa obulungi era kye tulabako n'amaaso gaffe nti omuzimu gubeera we guba gwagadde, okusingira ddala ku bisigalira by'omufu.
Ate akabi akali mu kulowooza nti omuzimu tegufa, kiba kimenyawo Omubaka (swalla Llaahu alaihi wasallama) kye yagamba nti '…amajiini n'abantu bifa' nga bwe tunaalaba mu maaso eyo in-sha-Allah, ate nga omuzimu kika kya majiini.
Ate okulowooza nti wateekeddwa okubaawo enkolagana wakati w'abantu n'emizimu, kiviiirako abantu okukola shiriki olw'okwagala okussaawo enkolagana eyo. Singa Allah yali ayagala tukolagane n'emizimu oba n'amajiini, teyaalibitukwese.
Ate okulowooza nti omuzimu gumala ebizibu by'abantu, ekyo kiviirako abantu bangi okuddukira mu bigali oba mu masabo nga bafunye obuzibu ne bataddukira eri Allah, ate nga ekyo kikaafuwaza omuntu.

Ate okulowooza nti emizimu gyonna mikaafiiri nti era ze sitaani ekyo nakyo kikyamu nga bwe tunaalaba mu maaso eyo, kubanga ekya mazima kiri nti obwa sitaani eba nneeyisa ya kitonde so ssi buttonde bwakyo. Engeri gye kiri nti kikyamu okukaafuwaza atali mukaafiiri, mu ngeri y'emu kiba kikyamu okukaafuwaza buli muzimu ne bwe gutaba mukaafiiri.


Ekisembayo mu kabi akali mu butategeera kitonde muzimu, kiviiriddeko abantu bangi mu madiini amalala obutamanya nti ekibalinnya ku mitwe nga 'basaba' giba mizimu so ssi mwoyo mutukuvu.
Ndayira Omutonzi w'ebitonde oyo Abasiraamu gwe bakkiriza ate Abakaafiiri ne bamuwakanya, nti ekirinnya abantu abo ku mitwe gyabwe ssi kirala wabula giba mizimu na majiini! Ekyo kiva ku kuba nti abantu abo baabuwe tebamanyi mizimu. Kya nnaku nti ekitimba kya sitaani kino kyazingiramu n'abamu ku baali Abasiraamu nga bwe tunaalaba wansi w'omute ('Abasiraamu' abamu basinza mizimu).
N'olwekyo ezo z'ensonga ezantuma okuwandiika ku muzimu, ate nga nsonga nkulu nnyo nga naawe omusomi bw'olaba.

OMUZIMU KYE KKI?

Buli muntu yenna azaalibwa, ka babe Bannabbi ba Allah (awatali kwawulamu), buli omu azaalibwa nga Allah amutondeddeko ekitonde eky’omu majiini n’ekitonde eky’omu malayika.


Ekitonde ekyo eky’omu majiini kiyitibwa ‘qariinu’ mu Luwalabu, mu Luganda ‘muzimu’ ate mu Luswayiri kiyitibwa ‘ruhani’. Wabula amawulire agafa ku kitonde eky’omu malayika Allah yageesigaliza.
Ekigambo omuzimu mu Luganda, kigambibwa nti kyasalwako busalwa, nti okukimalayo edda kyayatulanga omuzzi-mu-muntu. Kigambibwa nti kyasalwako busalwa nga kiyitiridde obuwanvu naddala eri abo aboogera banguyiriza. Era kigambibwa nti olw'okuba baalowoozanga nti 'gudda' mu muntu omulala, nti kye guva gwayitibwanga omuzzi-mu-muntu!

Mu Luwalabu okuguyita qariinu, kyazimbibwa ku makulu amalala agali mu kigambo ekyo. Ekigambo ekyo amakulu amakulu gaakyo amalala mu okusooka kyali kitegeeza munno ow'omunda ennyo olumu ayitibwa omunywanyi! Era mu makulu ago, Allah yakikozesa mu Qur’an mu bifo eby'enjawulo abantu abamu ne balowooza mu bukyamu nti yali ayogera ku muzimu.


Eky'okulabirako, Allah yakikozesa mu (Suurat al-Sswaaffwaat: Aya51) ne mu (Suurat Qaaf: Aya 23). Mu Aya ezo zombi Allah okwogera ku qariin yali tategeeza muzimu; yali ategeeza munywanyi -ekitegeeza mukwano gw'omuntu ow'omunda ennyo.
Mu Luwalabu omuzimu okuguyita qariinu ekitegeeza omunywanyi, kyazimbibwa ku kuba nti omuzimu n'omuntu kwe guba gwatondebwa baba banywanyi nnyo. Okumanya baba banywanyi ekigenze ewala, gukoppa buli kantu ku muntu oyo, omuli okumukoppako amannya ge, eddoboozi lye, enneeyisa ye, eddiini ye n'ebirala bingi nga bwe tunaalaba mu maaso.
Olw'okuba ago ge gamu ku makulu g'ekigambo ekyo, bbo Abawalabu omukyala w'omuntu, naddala owa kabaka (Naabakyala) naye bamuyita qariinatu ekizaalukuka mu qariinu.Era ekigambo إِقْتِرَانُ))–soma 'iq'tiraanu' ekitegeeza okwetabika, nakyo kyazaalukuka mu kigambo qariinu, nga ekibigatta kwe kuba nga n'omuzimu (qariinu) nagwo gwetabika n'omuntu mu mubiri gwe.

Omuzimu ogwo kye kitonde olumu ekitera okulumba abantu, era olumu kyeyitira ddala erinnya ly’omufu era n’okwogera kyogerera ddala mu ddobozi ly’omufu. Ekitonde kino kya njawulo nnyo ku mwoyo nga bwe tunaabiraba mu maaso eyo, era eba nzikiriza nkyamu okulowooza nti ekitonde ekyo gwe mwoyo gw'omuntu.

Omuzimu nagwo gufa nga ebitonde ebirala bwe bifa era ensonga eno nja kigikkaatiriza nnyo mu maaso eyo in-sha-Allah wansi w'omutwe 'Omuzimu nagwo gufa'.
Ekitonde ekyo olumu kibeera mu muntu mwennyini ate olulala kyekuumira nnyo ku kintu kyonna eky’ekuusa ku mubiri gw’omuntu oyo. Bw’aba mulamu, olumu kyagala nnyo okubeera awaba ekintu kyonna ekyekuusa ku mubiri gw’omuntu oyo - engoye ze, enviiri z’aba asaze oba enjala ze.

Olw’okuba abalogo bamanyi nti omuzimu ogwo gwekuumira nnyo ku bintu ebyo, baba bamanyi nti essaawa yonna gusobola okubiddako ne bagukwatirawo nga beeyambisa amajiini gaabwe basobole okutuusa obulabe ku nnyinigwo. Obulabe bwonna obutuuka ku muzimu, buba bukosa butereevu omuntu gwe guliko. Abalogo bayinza okukusaba olugoye lw’oyo gwe baagala okuloga, enviiri ze oba enjala ze olumu basaba n’ettaka w'aba yalinnye.

Omusajja Omuyudaaya ayitibwa Labiid bin al-A’aswam bwe yali ayagala okuloga Nnabbi Muhamaad (swalla Llaahu alaihi wasalaama), yeeyambisa buviiri bwa kisanirizo kye.

Ekyafaayo ky’okulogebwa kwe kyannyonnyolwa bulungi mu kitabo kya Haddithi ekya (Swahiih al-Bukhaar).

Baba bakyamu abeerippa ku mbeera eyo, ne bagamba nti sitaani yasinza Omubaka wa Allah (swalla Llaahu alaihi wasalaama) amaanyi! Ekituufu Allah yali amugezesa bugezesa ng’era bwe yegezesa Nabbi we Ya’aquub (Yobu), kubanga naye ekigezo kye Allah yakiyisa ku sitaani. Soma (Suurat Swad: Aya 41).
Bayibuli nayo bw’etyo bw’ekiraga, ne wankubadde kirabikamu engeri y’okusavuwaza, anti egamba nti Yobu ‘yaddiranga olujjo ne yeeyaguza omubiri gwe n’atuuka n’okutuula mu vvu eryamuvangako’! Soma (Yobu 2: 8).

Newankubadde eddogo Omubaka (swalla-Llaahu alaihi wasallama) lyamukwata era ne limukosa, naye tekyava ku kuba nga yali ‘alegezza’ mu ddiini ng’olumu bwe guba ku ffe. Allah yye kennyini ye yaleka embeera eyo ebeerewo ng’ayagala okumugezesa n’okutulaga nti naye yali muntu nga ffe, mpozzi n’okutuyigiriiza nti singa omuntu aba alogeddwa yejjanjaba atya?


Olulala omuzimu gubeera wabweru wa mubiri gwe, wabula bwe gubeera wabweru w’omubiri olumu gutera okumwesuula akabanga naye oluvannyuma ne gudda mu mubiri. Omuntu bw’afa, gubeera nnyo awali ebisigalira by’omufu.

Ekitonde ekyo abalogo olumu basobola okukikwata ku muntu nga beeyambisa amajiini gaabwe nga baagala okukutuusako obulabe, oba okukyogeza ebyama byo. Wabula ekyo tebasobola kukikola okujjako nga weebase. Olw’okuba ekitonde ekyo kyagala nnyo okubeera awali ekintu kyonna ekyekuusa ku mubirigwo, abalogo kye bava bakyeyambisa okulogerako abantu.


Ewamu n’okuba nga omuzimugulina akakwate k’obuzaale n’omuntu, naye teri jiiini lirina kakwate konna na Allah. Ekiyunga ejjiini ne Allah (oba akakwate wakati w’ejjiini ne Allah), kiri kuba nti Allah ye Mutonzi, ate ejjiini kitonde kye

Nga Nabbi (swalla Llaahu alaihi wasallama) tannatumwa, Abawalabu bangi baalina endowooza egamba nti Allah alina oluganda ku majiini era enzikiriza eyo Allah yagivumirira nyo mu Quraani n‘agamba nti:

وَجَعَلُوْا بَيْنَهُ وَبَيْنَ الْجِنَّةِ نَسَبًا، وَلَقَدْ عَلِمَتِ الْجِنُّ أَنَّهُمْ مُحْضَرُوْنَ[ (سُورَة الصَّافَاتِ : آية ۱٥۸).

Era baateekawo wakati we (Allah) ne wakati w’amajiini olulyo so nga amajiini gamanyi nti ddala ga kuleetebwa (mu maaso ga Allah). Allah yayawukana n’ebyo bye boogera”. Soma (Suurat al-Swaaffaat: Aya 158)!



OBUJULIZI OBULAGA NTI BULI MUNTU ALIKO OMUZIMU

Swahaba ayitibwa Ibn Mas’uud (Allah amusiime) yagamba nti, Omubaka wa Allah (swalla Llaahu alaihi wasallama) yagamba nti:


[عَنْ ابْنِ مَسْعُوْدٍ رَضِيَ اللهُ عَنْهُ قَالَ: قَالَ رَسُوْلُ اللهِ صَلَّى اللهُ عَلَيْهِ وَسَلَّمَ: مَا مِنْكُمْ مِنْ أحَدٍ إلاَّ وُكِّلَ بِهِ قَرِيْنُهُ مِنَ الجِنِّ وَقَرِيْنُهُ مِنَ المَلاَئِكَةِ. قَالُوْا: وَإيَّاكَ يَا رَسُوْلَ اللهِ؟ قَالَ: وَإيَّايَ، إلاَّ أنَّ اللهَ أعَانَنِيْ عَلَيْهِ فَأسْلَمَ وَلاَ يَأْمُرُنِيْ إلاَّ بِخَيْرٍ]. (رَوَاهُ مُسْلِمُ)

Teri muntu yenna mu mmwe okujjako nga yassibwako munne mu majiini ne munne mu Malayika. Baamubuuza nti: Omubaka wa Allah n’awe? N’agamba nti: Nange, wabula nze Allah yannyamba ku (kitonde) ekyo ne kigyemulukuka, era tekindagira okujjako birungi byereere”. Soma (Swahiih Muslim: 17/157) eriko okunnyonnyola kwa Imaam Nawawi 631-676 HJ.


Mu Hadiithi eyo waggulu, Nabbi (swalla-Llaahu alaihi wasallama) gw’ayise ‘munno’ mu majiini, abamanyi mu Busiraamu baakyegattako nti kye kitonde ekiyitibwa qariinu mu Luwalabu ffe wano e Buganda kye tuyita omuzimu. Hadiithi eyo eraga nti buli muntu aliko omuzimu.
Abantu abamu mu butamanya beegaana nti tebaliiko muzimu. Olw’okuba emizimu abantu bagimanyidde mu kutuga bantu, balowooza nti ke bakkiriza nti gibariko, bajja kuba beelaze nti nabo bakyamu! Omuzimu kitonde ekyatutonderwamu nga bw’olaba omwoyo bwe gwatutonderamu. Ekigamba nti omuzimu ye ‘mwana’ ajja oluvannyuma nga omukazi amaze okuzaala, ekyo si kituufu n’akatono.

OMUZIMU GUSOBOLA OKUSIRAMUKA?

Okusinziira ku njigiriza y’Obusiraamu, amajiini nago galina enzikiriza nga ez’abantu. Mugo mulimu Amasiraamu n’agatali Masiraamu (amakaafiiri). Olw’okuba emizimu nagyo kika kya majiini nga bwe twakirabye emabega, twagala tulabe oba mugyi namwo mulimu Amasiraamu.

Dr. Umar Sulaiman al-Ash’qar mu kitabo kye [عَالَمُ الْجِنِّ وَالْمَلاَئِكَةِ] ekitegeeza nti Ensi Y’amajiini ne Malayika’ yagamba bwati:
قال الدكتور عمرالأشقر:[وَقَدْ يَصِلُ الأمْرُ أنْ يُؤَثِّرَ المُسْلِمُ عَلَى قَرِيْنِهِ المُلاَزِمِ لَهُ فَيُسْلِمَ]. انظر (عالم الجن والملائكة).

Embeera eyinza okutuuka ku kuba nga Omusiraamu ayinza okukyusa omuzimu gwe ogumubeerako ne gusiramuka”.


Dr.Umar ategeeza, nti ssinga Omusiraamu yeeyisa bulungi mu ddiini, asobola okugonza omuzimu ggwe ne gujeemulukuka oba ne gusiramuka.
Ewamu n’okuba nga yye bw’atyo bwe yagamba, naye mukugu munne mu bitonde bino enzaalwa y’e Misiri, Sheikh Abdul Ssalaam Waheed Baali ye teyakkaanya naye. Mu kitabo kye (al-Wiqaayat: olup.39) yawakanya ekigamba nti omuzimu gusobola okusiramuka. Mu kukiwakanya yawa ensonga ssatu, era ze zino wammanga:

  1. Okusiramuka kw'omuzimu ekyo kyeyawulidde Nnabbi Muhammad (swalla Llaahu alaihi wasallama) kubanga Hadiith yakyasanguza kaati bw'etyo.

  2. Yazzaako nti olaba ne Umar (Allah amusiime) eyali omusigire wa Nnabbi (swalla Llaahu alaihi wasallama) ow’okubiri teyasobola kusiramula muzimu gwe, olwo butya ffe abantu ba bulijjo?

  3. Yasembyayo ekigamba, nti singa Omusiraamu yenna atali Nabbi (swalla Llaahu alaihi wasallama) yali asobola okukyusa sitaani ye n’esiramuka (ategeeza omuzimu gwe), nti ekigenderelwa kya Allah eky’okugezesa abaddu be tekyalisobose kutuukirira.

Ezo z’ensonga essatu Sheikh Abdul Ssalaamu Waheed Baali ze yawa ng’awakanya ekigamba nti omuzimu gusobola okusiramuka.


Okulaba kwange

Mu kulaba kwange, wabula nga Allah y’asinga okumanya ekituufu, ndaba nga ensonga ya Dr.Umar ey’okuba egamba nti omuzimu gusobola okusiramuka-ndabanga erimu eggumba. Ngamba bwentyo, kubanga ensonga essatu Shk. Abdu Ssalaam Waheed ze yawa zisobola okwanukulwa bwe ziti:




  • Mu kutegeera kwange, Hadiithi eyo Nabbi Muhammad (swalla Llaahu alaihi wasallama) muyo yali akkaatiriza bukkaatiriza nti buli muntu aliko omuzimu. Mu kugamba nti ogugwe tegumulagira okujjako birungi byereere, mu kulaba kwange tekiggwayo nti ogw’omulala gumulagira bibi byereere. Mu kulaba kwange kiggwayo nti olumu ogw’omulala gusobola okumulagira ebibi ate olulala ne gumulagira ebirungi. Ekyo nja kukiwaako obujulizi obw’obuntu.




  • Ekya Umar (Allah amusiime) okuba nga sitaani zaali zimutya ekyo kituufu, kubanga ne bwe yakwatanga ekkubo lino nga zzo zikwata ddala. Wabula sitaani ezaali zimutya si gwe muzimu gw’omuntu, kubanga sitaani n’omuzimu bitonde bya njawulo nga bwenja okukiraga mu maaso eyo in-sha-Allah.




  • Singa ddala ebigezo Allah by’awa abantu yali abiyisa ku muzimu gwa muntu nga Sheikh bwe yakisiinyaako, kyalibadde kitegeeza nti ne Nabbi (swalla llaahu alaihi wasallama) Allah teyamugezesanga,kubanga ogugwe gwali gwasiramuka! Engeri gye waliwo obujulizi nga naye Allah yali amugezesa, ekyo kiba ky’ongera okulaga nti ensonga ya Sheikh Waheed ey’okusatu ekyeetaaga okwekenneenyezebwa ennyo! Obujulizi obuliwo bulaga nti Allah ebigezo bye abiyisa ku mitima egibeera mu bifuba by’abantu! Soma (Suurat al-Naas: Aya 4), so ssi ku mizimu gyabwe.




  • Eky’enkomeredde ku nsonga eyo, obujulizi obw’enkukunala weebuli obulaga nti waliwo omuzimu Omusiraamu era nga bwe buliwo nti waliwo n'ogutali. Singa omuntu afa nga Musiraamu n’omuzimu gwe guba Musiraamu, wabbula bw’afa nga si Musiraamu, era n’omuzimu gwe gusigala ssi Musiraamu.

Ekituufu kiri nti enneeyisa y’omuntu y’eba enneeyisa y’omuzimu gwe; bw’aba mulongoofu nagwo guba mulongoofu bw’aba mwonoonefu era nagwo guba mwonoonefu. Ewamu n’ekyo, ate ekituufu kiri nti omuntu bw’amala okufa omuzimu gwe ne gusigala nga mulamu, olw’okuba guba tegukyali mu muntu gwe kukoppako nneeyisa, gwo gusobola okukyusa enneeyisa yaagwo; ogutabadde Musiraamu ne gusiramika oba ogubadde Omusiraamu ne gukaafuwala, naye nga kino ekisembyeyo tekitera kubaawo era nga bwe guli mu bantu!

Singa tutwala ekigamba nti omuzimu tegusobola kusiramuka, kijja kuba kitegeeza nti singa omuzimu ogutali Musiraamu gulumba omuntu, tewaba bwetaavu kugubuulirira gusiramuke. Naye abaffe bwe gutyo bwe guli? Nedda nedda!


Olw’ensonga eyo n’endala ennyingi ze ndeseeyo, nze ndaba nga omuzimu gusobola bulungi okuba Omusiraamu singa omuntu kwe guba nga aba Musiraamu oba nga amaze okufa. Ekitasoboka, gwo kwe kusiramuka ng’ate omuntu kwe guli ssi Musiraamu, ate ng’akyali mulamu.
Nga bwe kiri nti emizimu ‘gikoppa’ ku muntu buli kimu, omuli amannya ge, olulimi olw’ogerwa, okwekuumira mu lulyo lw’omufu n’okwogera eddoboozi nga ery’omufu, ekituufu kiri nti tegusobola kukoppa ebyo byokka ne gutakoppa nzikkiriza ye oba eddiini ye!

Ekintu kye tulabako n’amaaso gaffe tekiyinza kukoonagana na Haddithi okujjako nga Haddithi yeetegereddwa obubi, oba nga kye tulabye tukirabye mu bukyamu. Nsaba Allah asonyiwe bwe mba nze ndabye obubi era asonyiwe ne Dr. Umar, naye nga nkyalaba nti omuzimu gusobola bulungi okuba Omusiraamu in-sha -Allah.



Yüklə 278,31 Kb.

Dostları ilə paylaş:
  1   2   3




Verilənlər bazası müəlliflik hüququ ilə müdafiə olunur ©genderi.org 2024
rəhbərliyinə müraciət

    Ana səhifə