Ebifa ku muzimu


ABASIRAAMU ABAMU BASINZA EMIZIMU N'AMAJIINI



Yüklə 278,31 Kb.
səhifə3/3
tarix26.10.2017
ölçüsü278,31 Kb.
#6564
1   2   3

ABASIRAAMU ABAMU BASINZA EMIZIMU N'AMAJIINI

Ku mulembe ggwaffe guno, waliwo abantu abeerimbika mu Busiraamu sso nga Obusiraamu buli wala nnyo nabo, nga nabo basinza mizimu na majiini mu kumanya oba mu butamanya!

Bakungaanira mu maka g’omu kubo, naddala ku Lw’okuna, ne batandika okukola bbo kye bayita okutendereza Allah mu lwatu. Bateekamu okuyimba n’okuzina – bbo kye bayita ‘okuzikira’

nga bwe bagamba nti ‘A’aallah’ ‘A’aallah’, oba ‘Huuwah’ ‘Huuwah’ okutuusa amajiini lwe gabalinnya ku mitwe.

Bwe gabalinnya ku mitwe, bbo bakiyita ‘jaz’bah’, oba mu Luganda-Luwalabu ‘okujazibika’. Balina endowooza egamba nti, ekyo gwe kiba kituuseeko, nti liba ddaala lya waggulu nnyo mu kusinza Allah. Eddaala eryo bbo baliyita ‘yaqiini’. Bagamba nti ‘yaqiini’ eyo, nti y’eyo Allah gye yagamba Nabbi (swallah Llaahu alaihi wasallama) bwe yamugamba nti amusinze okutuusa yaqiini lw’enaamujjira - nga bwe kiri mu (Suurat al-Hij’r: Aya 99).

Ekituufu yaqiini eyogerwako mu Aya eyo, kyali kitegeeza ‘kufa’! Ekyo kiba kitegeeza nti Allah yali agamba Nabbi we Muhammad (swalla Llaahu alaihi wasallama) amusinze okutuusa lw’alifa. Abantu abo mu mazima baba basinza mizimu na majiini, era ne wano e Uganda weebali, era kakundi kamu mu bukundi obungi obw'Abasuufi nga babayita ‘mystic’ mu Lungereza ate mu Luwalabu bayitibwa [الصُّوْفِيَّةُ].

Ennaku zino wano e Uganda beeyubululidde mu linnya ddala; kati beeyita Bamuhibbiina naye nga be bamu Abasuufi bennyini! Enkola yaabwe eyo ne wankubadde ya buganzi nnyo mu Basuufi, naye mubo mulimu abatagiwagira era nga bagivumirira nga obukyamu bwabwe bulabikira mu bintu birala.

Abo abawagira enkola eno balina n’ekigamba nti Nabbi (swalla-Llaahu alaihi wasallama) yagamba nti: “Tendereeza nnyo Allah batuuke n’okukuyita omulalu”! Eyo si Hadiith ya Nnabbi (swalla-Llaahu alaihi wasallama), wabula bigambo bijweteke nga abakugu mu Hadiith bwe baatulabula.

Enkola y’abantu abo terina njawulo na ya Bawalabu gye baakolanga nga Nabbi (swalla Llaahu alaihi wasallama) tannatumwa. Baayimbanga nga bwe bazina, wamu n’okukuba mu ngalo nga bataddeko n’okufuuwa empa.

Okusamira kwabwe okwo bbo baalowoozanga nti kusinza Katonda. Abantu abo Allah yabavumirira mu Quraani n’agamba nti:

وَمَا كَانَ صَلاَتُهُمْ عِنْدَ البَيْتِ إِلاَّ مُكَاءً وَتَصْدِيَةً ...[ (سُوْرَةُ الْأَنْفَالِ: آية ۳٥) .

Okusaba kwabwe kwe baakoleranga ku nju (Kaaba), kwabanga kukuba mu ngalo na kufuuwa mpa……”. Soma (Suurat al-An’faal: Aya 35).


Mu ngeri endala tebaba na njawulo na basamize abakungaanira awantu, ne batandika okuyimba ennyimba ezikoowoola lubaale. Abasinza lubaale ekituufu baba basinza mizimu na majiini, nga na bano abawoza ‘Aallah Huuwah’ bwe bakola mu butamanya. Ekibalinnya ku mitwe era kye kirinnya n’abasamize – nga gaba majiiini. Ekigambo kino ne wankubadde kikaawa nga omususa, naye ago ge mazima agakaawa. Teri asinga Mubaka Muhammad (swalla Llaahu alaihi wasallama) kusinza Allah (omuli n’okuleeta zikiri), naye teyaggwangamu magezi nga abo! Ndayira Allah eyatutonda nti bwe tulifa, mujja kukisanga nga bwe mbannyonnyodde.
Mu ngeri endala tebaba na njawulo na ‘Balokole’ abamu abakuba ebivuga ne bayimba nga bwe bazina, okukkakkana ng’amajiini n’emizimu bibalinnye ku mitwe. Bangi mubo baabuwe baba balowooza nti ‘mwoyo mutukuvu’ y’aba abasseeko. Majiini gennyini n'emizimu bye biba bibalinnye so ssi mwoyo mutukuvu.
Nga nva ku nsonga eno, nkubira Abasiraamu omulanga baviire ddala ku kukola ebikolwa eby’okubookesa omuliro, basinze Allah waabwe omu yekka oyo eyabatonda era n’atonda buli kimu.

Mu kitabo kyange 'Ebifa ku majiini', bwe nnali mpandiika ekyantuma okukiwandiika, nagamba nti ekimu ku bigendererwa kwali kulaga bantu, okusingira ddala Abasiraamu, obunafu bw’ebitonde bino, balekere awo okubisinza.


Ebyo byonna bikakasa nti ensibuko y’abantu okusinza ebitonde, baasokera ku kusinza mizimu gya bafu. Olw’ensonga eyo, nsuubira nti abantu abasinza emizimu n’amajiini mw’abo bemmenye waggulu, nsuubira bajja kwekuba mu kifuba, bave ku kusinza bitonde binnaffe, basinze Omutonzi waabyo, Allah (sub’haanahu wata-aala).
OMUZIMU NAGWO GUFA

Omuzimu nagwo gafa ng’omuntu bw’afa kubanga nakyo kitonde nga ebitonde ebirara. Ewamu n'ekyo, kwo okufa kwagwo kubaawo mu mbeera bbiri.




  1. Waliwo lwe gufiira okumu n’omuntu; nga bwe gufa n’omuntu afiirawo.

  2. Ate waliwo lwe gufa nga omuntu gwe gwaliko yafa dda. (Tegusobola kufa ate nga omuntu kwe guli akyali mulamu).

Wabula ewamu n’okuba nga omuzimu gufa, naye ensonga ezimu kwe gusinziira okufa zaawukana ku z’abantu. Okugeza newankubadde gusobola okufiira mu ntalo zaagwo nga gulwanagana ne ginne waagyo, naye ate tegufa bulwadde obumu obuluma abantu, naddala obulwadde obuleetebwa obuwuka. Ekirala guwangaala nnyo okusinga ku bantu, kuba gusobola n’okusukka emyaka ebitaano!


Obujulizi obukakasa nti emizimu nagyo gifa, era bwe bujulizi obulaga nti amajiini gafa. Emizimu kika kya majiini, era y'ensonga lwaki twalabye nga Omubaka (swalla Llaahu alaihi wasallama) omuzimu yaguyita 'munne w'omuntu mu majiini'. Yagamba mu Hadiith eva ku Ibn Mas'uud (Allah amusiime) nti:
(عَنْ ابْنِ مَسْعُوْدٍ رَضِيَ اللهُ عَنْهُ قَالَ: قَالَ رَسُوْلُ اللهِ صَلَّى اللهُ عَلَيْهِ وَسَلَّمَ: مَا مِنْكُمْ مِنْ أحَدٍ إلاَّ وُكِّلَ بِهِ قَرِيْنُهُ مِنَ الجِنِّ......). (رَوَاهُ مُسْلِمُ).

Teri muntu yenna mu mmwe okujjako nga yassibwako munne mu majiini…….". Soma ekitabo (Swahiih Muslim: 17/157) ekiriko okunnyonnyola kwa Imaam Nawawi 631-676 HJ.


Omubaka gwe yayita munne w'omuntu mu majiini, yali ategeeza muzimu gwa muntu nga bwe twakirabye emabega. Okuguyita munne w'omuntu mu majiini, yali akikkaatiriza nti omuzimu kika kya majiini. Wabula waliwo enjawulo entonotono eziri wakati w'omuzimu n'ejjiini nga bwe tunaakiraba mu maaaso in-sha-Allah.

Obujulizi obulaga nti omuzimu gufa, Allah yagamba mu Qur’an nti:

كُلُّ نَفْسٍ ذَائِقَةُ الْمَوْتِ ...[ انظُرْ (سُوْرَة آل عِمْرَان : ۱۸٥).

Buli mwoyo gwa kukomba ku kufa……..”. Soma (Suurat Aal Im’raan: Aya 185).


Omukugu mu kuvvuunula Quraan, Imam Ibn Kathiir 701-774HJ bwe yali avvuunula Aya eyo yagamba bw’ati:

[يُخْبِرُ الله تَعَالَى إِخْبَارًا عَامًا يَعُمُّ جَمِيْعَ الْخَلِيْقَةِ بِأَنَّ كُلَّ نَفْسٍ ذَائِقَةُ الْمَوْتِ ... فَهُوَ تَعَالَى وَحْدَهُ الْحَيُّ الَّذِيْ لاَ يَمُوْتُ وَالْجِنُّ وَالإِنْسُ يَمُوْتُوْنَ، وَكَذَلِكَ الْمَلائِكَةُ وَحَمَلَةُ الْعَرْشِ...]

Allah yategeeza mu njogera ey’olukale eyazingiramu buli kitonde nti buli mwoyo gwa kukomba ku kufa………Allah eyayitirira okuba owa waggulu ye yekka oyo atafa, so nga amajiini n'abantu bafa nabwekityo malayika omuli n'ezo ezeetisse nnamulondo…”.

Mu Aya eyo mulimu obujulizi nti omuzimu gufa, kubanga tukirabye kaati mu Hadiith eyo waggulu nti omuzimu kika kya majiini. Kitegeeza amajiini bwe gaba nga gafa, ate tewaba kigaana mizimu kufa.

Obujulizi obulala obulaga nti emizimu gifa, Omubaka wa Allah (swalla Llaahu alaihi wasallama) bwe yalinga asaba Allah yasabanga bw’ati:

[اللَّهُمَّ لَكَ أَسْلَمْتُ، وَبِكَ آمَنْتُ، وَعَلَيْكَ تَوَكَّلْتُ، وَإِلَيْكَ أَنَبْتُ، وَبِكَ خَاصَمْتُ. اللَّهُمَّ إِنِّيْ أَعُوْذُ بِعِزَّتِكَ لاَ إِلهَ إِلاَّ أَنْتَ أَنْ تَضِلَّنِيْ، أَنْتَ الْحَيُّ الَّذِيْ لاَ يَمُوْتُ، وَالْجنُّ وَالإِنْسُ يَمُوْتُوْنَ] (رواه البُخَارِيُّ :

Ayi Allah neewaddeyo gy’oli, era Ggwe gwe nnakkiriza, era ku Ggwe kwe nneesigamidde, era gy’oli gye nnadda, era Ggwe gwenkaayanyisa (gwe njuliza mu nkaayana). Ayi Allah nkusaba olw’ekitiibwa kyo, era nga nkakasa nti tewali kisinzibwa mu butuufu okujjako Ggwe, nkusaba oleme kumbuza, Gwe mulamu oyo atafa so ng’amajiini n’abantu bafa”. (Swahiih Bukhaar, 7|167).

Hadiithi eyo eraga nti emizimu gifa, kubanga tukirabye nga Nabbi Muhammad (swalla-Llaahu alaihi wasallama) omuzimu yaguyita munne w'omuntu mu majiini. Kitegeeza teyaalisabye Allah bw’atyo singa amajiini gaali tegafa, kubanga teyayogeranga nga yeetumiikirizza, wabula buli kye yayogeranga nga kikwata ku kusinza Allah bwabanga bubaka obwamubikkulirwanga okuva ewa Allah. Soma (Suurat al-Naj’m: Aya 4).
Olw’okuba emizimu bitonde ebifa, kiba kitegeeza nti tekiba kituufu kubisinza era nga bwe kitali kituufu kusinza kitonde kyonna ekifa - omuli ne Nnabbi Isa mutabani wa Maliyamu.

Ekigamba nti omuzimu tegufa ekyo si kituufu, kubanga nagwo kitonde butonde mu bitonde bya Allah, kakibe nga kituufu nti guwangaala nnyo.


Era obujulizi obw'obuntu obulaga nti emizimu gifa, kwe kuba nti bwe girinnya abantu ku mitwe ne tubasomera Ruq'ya, gimanyi okuwanjaga nga gigamba nti 'temututta'! Dala gyaliwanjaze bwe gityo singa gyali tegifa?


OMUZIMU SSI GWE MWOYO

Mu nzikiriza ezimu wamu n’obuwangwa, kitwalibwa nti omwoyo gwe muzimu, naye ekituufu kiri nti ebyo bitonde bya njawulo. Omwoyo gw’omuntu tegufa ate omuzimu gufa, olw’ensonga eyo ebitonde ebyo tebiyinza kuba bye bimu. Okusinzira ku Quraani ne Hadiithi, bw’olondoola omwoyo gw’omuntu ng’amaze okufa, okizuula nga ggwo tegufa. Ate omuzimu engeri gye guli jjiini gwo gufa, kuba amajiini gafa nga bwe tukirabye mu mulyango oguwedde ne mu kitabo kyange 'Ebifa ku majiini'.


Singa omuntu afa ng’abadde mulongoofu, omwoyo gwe guba mu Jjana, ate bw’aba mwonoonefu gubeera mu muliro. Olw’okuba ekitabo kino kizimbire ku Quraani ne Hadiithi, ngenda kulaga obujulizi ku nsonga eyo.
Omwoyo gw’omuntu omwonoonefu bwe guba mu muliro, tegusobola kutolokamu, ate ogw’omulongoofu bwe guba mu Jjana nagwo tegusobola kugivaamu. Ku ky’okuba nga ogw’omwonoonefu tegusobola kutoloka mu muliro, Allah yagamba mu Quraani, nti:
"كُلَّمَا أرَادُوْا أنْ يَخْرُجُوْا مِنْهَا أُعِيْدُوْا فِيْهَا........"(سُوْرَةِ السَّجْدةِ: آيَة ۲۰).

“…..buli lwe balyagalanga okuguvaamu, nga bazzibwamu…..”. Soma (Suurat al-Saj’da : Aya 20), ne (Suurat al-Zukh’ruf: Aya 77).

Aya eyo eraga nti abantu abaliba mu muliro baligezaako okugutolokamu, naye okugezaako kwabwe kuligwa butaka. Ekyo kiri bwe kityo lwa kubanga Malayika ezikuuma ‘ekkomera’ ly’omuliro nsukkulumu mu maanyi, nga Allah bwe yagamba mu (Suurat al-Tah’riim:Aya 6).
Olw’ensonga eyo, omwoyo tegusobola kuvaamu nti gudde ku nsi. Ffe kye tuyita omwoyo guba muzimu gwa mufu. Omuzimu ogwo guba gwasigala mu nsi nyini gwo bwe yamala okufa.
Mu kifo ekirala mu Quraani, Allah bwe yali annyonnyola engeri omuntu omwonoonefu gy’alaajanamu nga okufa kumutuuseeko, atuuke n’okusaba Allah amuzze ku nsi, Allah mu kugaana okusaba kwe amuddamu bwati:

"...كَلاَّ إنَّهَا كَلِمَةٌ هُوَ قَائِلُهَا، وَمِنْ وَرَائِهِمْ بَرْزَخٌ إلَى يَوْمِ يُبْعَثُوْنَ". (سُوْرَةُ المُؤْمِنُوْنَ: آيَة ۱۰۰).)

“……nedda nedda! Ekyo ekigambo wa kukyogera bw’ogezi, kubanga amabega waabwe eriyo ejjiji okutuusa lwe balizuukizibwa”. Soma (Suurat al-Mu’uminuuna: Aya 100).

Mu Aya eyo, Allah alaga nti omuntu bw’afa, nga amazuukira g’ebitonde ag’ekirindi tegannatuuka, teba muntu yenna asobola kudda ku nsi, kubanga wakati w’okufa n’okuzuukira waliwo ejjiji eritawaguzika kudda ku nsi. Bwe kiba nga oyo ayogerwako mu Aya eyo aba tannafiira ddala, olwo butya aba afiiridde ddala bw’oyinza okugamba nti omwoyo gwe guyinza okukomawo?
Ekirala Nabbi Muhammad (swalla Llaahu alaihi wasallama) yannyonnyola mu Hadith entuufu n'agamba nti nga amazuukira gatuuse, entaana ye y’egenda okusooka okujjibwako ettaka. Ekyo kitegeeza nti y’agenda okusooka okuzuukira. Engeri gye kiri nti omubiri gwe gukyali mu ntaana, kitegeeza nti teba mwoyo gwonna gusobola kumusooka kuvaayo.

Obujulizi obwo bwonna bulaga nti ssi muntu era ssi mwoyo gwe nti gwe guba gukomyewo, wabula guba muzimu gwe abamu gwe bayita ‘omuzzi-mu-muntu’ ekisalwako nti ‘omuzimu’

Abo bonna abaafa nga waliwo obujulizi obutuufu nti baazuukira, nga Allah gw’ayogerako mu (Suurat al-Baqara: Aya 259), abo Allah aba asoose kujjawo jjiji eryo. Era eyo eba mbeera ya njawulo, etejjaawo kigamba nti omwoyo gw’omuntu tegudda ng’enkomerero tennatuuka.

Bwe tudda ku mwoyo gw’Omukkiriza, gwo ekituufu guba mu Jjana, nga Allah bwe yagamba mu (Suurat al-Faj’r: Aya 27-70). Mu Aya eyo Allah yagamba nti:



)يَاأَيَّتُهَا النَّفْسُ الْمُطْمَئِنَّةُ, إِرْجِعِيْ إِلَى رَبِّكِ رَاضِيَةً مَّرْضِيَّةً....). سورة الفجر: آية ۲٧).

"Owange mwoyo ggwe omutebenkevu! Da eri Katonda wo nga osiimye era nga osiimiddwa….". Soma (Suurat al-Fajr: Aya 27).

Aya eyo eyogera ku muntu eyaakafa biki ebiddirira.Tewali mwoyo guliba mu Jjana ate ne gwegomba okudda ku nsi, okujjako ogw’omuntu eyafiirira eddiini ya Allah (ey’Obusiraamu).

Ewamu n’ekyo, era gujja kukoma ku kwegomba bwegombi, naye ssi gwa kudda. Ekirigwegombesa y’empeera ennyingi ennyo gye guliraba eriba eweereddwa 'Bamujaahiduuna'. Gulyegomba okudda ku nsi gulwane guddemu guweebwe empeera esingako. Ebyo bw’atyo Nabbi Muhammad (swalla Llaahu alaihi wasallama) bwe yabinnyonyola mu Hadiithi entuufu.
Ekirara kikyamu okulowooza nti omuntu bw’afa nti omwoyo gwe guwangibwa mu mubiri gw’omuntu omulala anaazaalibwa. Enzikiriza eyo nkyamu era mu Luwalabu eyitibwa (تَنَاسُخُ الْأَرْوَاحِ) oba mu Lungereza ‘transmigration’. Ekituufu kiri nti emyoyo gyonna egy’abantu Allah yagitonda dda, oluvannyuma Allah n’atonda emibiri ng’agijja mu nsigo y’obuzadde (sperms), nga bwe kiri mu (Suurat al-A’araaf: Aya 172) ne mu (Suurat al-Saj’dah: Aya7).
Omubiri bwe guweza emyezi ena mu lubuto, Allah agukolako ebintu bina, nga ekimu ku byo, alagira Malayika n’egufuuwamu omwoyo. Bw’atyo Nabbi (swalla Llaahu alaihi wasallama) bwe yabinnyonyola mu Hadiithi entuufu.
Ekirala kikyamu okulowooza nti omuntu bw’afa, nti omwoyo gwe gubeera Tanda, mu Ssingo. Abantu abamu (naddala Abaganda), bawanuuza nti eyo gye gutwalibwa ne gukuumibwa, mbu wabula emyoyo emyewagguzi mbu gyo gitolokayo, mbu era gye gino egitera okutuga abantu.

Obukyamu bw’enzikiriza eyo bulabikira mu kuba nti oli bw’akkiriza bw’atyo, aba tayawula muzimu ku mwoyo, era aba alowooza nti emizimu gibeera Ttanda! Nakiraze emabega nti, omuzimu gw’omufu gwekuumira nnyo ewaba ebisigalira bye, gube gwa muntu, nsolo, kinyonyi oba kiwuka, ate nga bwe gutyo bwe guba!


Oluvannyuma lw’okulaga enjawulo wakati w’omuzimu n’omwoyo, kiba kitegeeza nti, eba nzikiriza nkyamu okugamba nti ebitonde ebyo byombi kye kimu. Omuntu okuba n’enzikiriza eyo, kimuviiramu n’okulowooza nti teri kuzuukira yadde ejjana n’omuliro, anti aba alaba nga olufa ‘omwoyo’ gudda ku byagwo! Mu kitabo kino kyonna ensonga eno mu kulaba kwange ky'ekkinyuzi era omulamwa gwakyo.

ENJAWULO WAKATI W’EJJIINI N’OMUZIMU (QARIINU)

Ekituufu kiri nti ebitonde ebyo byombi bya njawulo, naye ewamu n’ekyo omuzimu (qariinu) kika kya majiini. Wabula ekyo tekitegeeza nti ebitonde ebyo byombi bifaanana mu buli kimu, era zino wammanga ze zimu ku njawulo z’ebitonde ebyo:



  • Omuzimu kitonde Allah kye yatonda ng’atonda omuntu; omuntu akula nagwo gukula, so nga omwoyo guba gwatondwa dda ne gumuteekebwamu ku myezi ena mu lubuto lwa nnyina, nga Nabbi (swallaLlaahu alaihi wasallama) bwe yakinnyonyola.

  • Ejjiini terisobola kumanya kiba ku mutima gwa muntu ne bwe liba limulinye ku mutwe, so nga omuzimu gw’omuntu gumanya, naye gumanya ky’oyo yekka kwe gwatondwa.

  • Emizimu gifumbiriganwa gyokka na gyokka, n’amajjini gokka na gokka, era ekyo kimu ku biraga enjawulo y’ebitonde ebyo.

  • Omuzimu kitonde ekinafu mu butonde bw’akyo n’obukugu bw’akyo bw’ogugeraageranya n’ejjiini, era omuzimu tegwepankira ku jjiini, okujjako nga tto!

  • Omuzimu ne bwe guwangaala gutya, tegusobola kufuuka musambwa ne gweraga mu kifaananyi ky’omuntu oba ekintu ekirala, so nga ejjiini bwe liwangaala ennyo ekyo likisobola.

Ezo ze zimu ku njawulo wakati w’amajiini n’emizimu, naye waliwo n’enjawulo endala ze ssisobodde kusika kati, n’endala ze ssimanyi.

Wabula ewamu n’okuba nga omuzimu tegusobola kufuuka musambwa, naye n’essaawa eno tukyawulira amawulire agalaga nti omuzimu gundi gwalabikidde gundi mu kifo gundi.

Mu kitabo 'Ebifa ku majiini', nagamba nti bw’olabanga 'omusambwa' mu kifaananyi ky’oyo eyafa, eryo liba jjiini eriba ly’efaanaanyirizza omufu oyo, wabula teguba muzimu gwe, kuba ggwo Allah teyaguwa busobozi obwo (obw’okwepanga n’okwepangulula).

Waliwo n’okuba nga olabira ddala ‘omufu’ kennyini naye nga si jjiini lye limwefaanaanyirizza, wabula nga maaso go ge gakyusiddwa, olumu olw’eddogo, nga bwe nnakiraga mu kitabo ekyo bwe nnajuliza (Suuratal-A’araaf : Aya 116) ne (Suurat Twaha: Aya 66).

Eky’okukyusa amaaso g’omuntu n’alaba ky’alabye naye nga tekiriiwo, n’omuzimu gusobola okukikola ku muntu. Wabula bwe kiba nga maaso ge gakyusiddwa n’olaba ky’olaba, ekyo ky’oba olabye tekisobola kukukosa ku mubiri gwo, kuba mu butuufu tekibaawo; kiba kiguumaaza oba kye bayita ‘hallucination’ mu Lungereza.

Ekirara ekibuzaabuza abantu ne bawakanya ekigamba nti omuzimu tegusobola kufuuka musambwa, bagamba nti baali bakirabyeeko oba okukiwulira mu nsonda ez’enjawulo, nga emizimu gy’abantu abamu gibeeyolekera, olumu mu kifaananyi ky’ensolo, ng’engo oba ttimba!

Embeera eyo ebeera bw’eti. Waliwo ebika ebimu ebisamira nga bikoowoola emizimu gy’abafu mu bika byabwe, baba bali awo engo oba omusota ne bijja we baba basamirila! Embeera eyo siwakanya nti teeriiyo, wabula ekituufu kiri nti engo eyo eba ezze oba omusota tekiba nti bye biba emizimu gy’abafu.

Engo eyo n’omusota ogwo biba bisolo byennyini, wabula nga biba birinyiddwa emizimu egyo, ne gibireeta we basamirira. Era okumanya biba bisolo byenyini, biba tebisobola na kwogera, sso nga bwe guba musambwa gwennyini, ne bwe guba mu kifaananyi ky’ensolo gusobola okwogera. N’olwekyo, omuzimu tegusobola kufuuka musambwa, era ekyo ky’ekyenkomeredde ku nsonga eyo eri oyo anoonya okunnyonnyoka.


ENDOOTO EZIMU ZIYITA KU MIZIMU

Buli muntu yenna Allah gwe yatonda aloota - ka babe Bannabbi. Enjawulo eriwo eri nti, bbo endooto zaabwe tezifaanana na zaffe mu byonna. Endooto za bika bisatu:


1.Eva ewa Allah (Katonda).

2.Eva ewa sitaani.

3.N’eyo ey’ebintu bye weebase olowooza.

Endooto ezo ez’ebika ebisatu, Nabbi Muhammad (swalla Llaahu alaihi wasallama) bw'atyo bwe yazitemateema mu Hadiithi entufu. Omuntu gy’akomya okutya Omutonzi we (Allah), ne Allah gy’akomya okuwa omuzimu gwe obukuumi n’atalootaloota ndooto za sitaani, kubanga endooto ezisinga ziyita ku muzimu gw’oyo aloota.


Ekyo kitegeeza nti omuntu oyo sitaani ziba zikaluubilirwa okusemberera omuzimu gwe zimuloose endooto ez’obulimba oba ez’entiisa. Era ekyo kwe kuva okuba nga Bannabbi ba Allah tebaalootanga ndooto za sitaani, era bbo kye balootanga nga bamanya nti bubadde bubaka okuva ewa Allah.

Eky’okulabilako, Nabbi Ibraahiim ekiragiro ky’okusala omwana we (Ismail) Allah yakiyisa mu ndooto. Soma (Suurat al-Sswaaffaat: Aya 102). Ne Nabbi Yusufu ekirooto eky’okuba ng'aliba Nnabbi, Allah yakimuyisizza mu ndooto. Soma (Suurat Yusufu: Aya 4-6). Ne Nabbi Muhammad (swalla Llaahu alaihi wasallama) eky’okuba nga yali wa kudda mu Makka gye yali agobeddwa Abakaafiiri, Allah yasooka kukimuyisiza mu ndooto. Soma (Suurat al-Fat’h: Aya 27). N’abalala bangi.


Endooto yonna eranga ekintu ekinajja mu maaso ne kigaana okutuukirira eba evudde eri sitaani, kubanga sitaani eba nnimba. Mujjikira bulungi mu kulonda kwa 2006 'omulanzi' eyagamba nti omu mu baali beesimbyewo kwaliko eyali ow’okufa! Kisoboka okuba nga ddala yaloota, wabula ffe Abasiraamu tukakasa nti endooto eyo yali evudde eri sitaani.

Wabula omuntu ne bw’ataba Nnabbi, naye asobola bulungi okuloota endooto evudde eri Allah era n’etuukirira, era ekyo kyali kituuse ku bantu bangi, nga Sheikh Swaleh Kiggundu be yanokolayo mu kitabo kye kye yatuuma ‘Endooto mu Busiraamu’.

Olw’okuba sitaani tezisemberera qariinu za Bannabbi, ekyo kye kyavaako okuba nga Nnabbi Muhammad (swalla Llaahu alaihi wasallama) yatuuka okuva mu nsi nga teyeerooteredde, kubanga okwerooterera okusinga ziba ndooto za majiini amakyamu (sitaani).

Lumu mu kisiibo kya Ramadhan, obudde bwakya nga Nabbi Muhammad (swalla Llaahu alaihi wasallama) alina janaba! Wabula mukyala we Aisha (Allah amusiime) yayanguwa okukinnyonnyola nti yali tagifunye lwa kwerooterera, ekyo ne kyongera okukkaatiriza nti yye teyeerootereranga.


Olw’okuba endooto ezimu ziyita ku muzimu gw’oyo aba aloota, ekyo kitegeeza nti singa omuntu aloota endooto eya sitaani, okugeza ng’alwanagana n’agasolo oba n’abantu, ekituufu kiba nti ssi ggwe oba olwana, wabula guba muzimu gwo, kubanga essaawa eyo gwe guba gulumbiddwa.

Wabula nga bwe watali kirema Allah, kisoboka bulungi omuntu okuloota endooto nga Allah y’agipanze naye n’eyita butereevu ku mwoyo gw’oyo aloota. Ekyo kibaawo Allah bw’aba ayagadde okukwekera ddala endooto eyo ebe ng’emanyiddwa gwe wekka agiroose.


Olw’ensonga eyo, Nabbi Muhammad (swallaLlaahu alaihi wasallama) kye yava atukubiriza obutamala ganyumya ndooto zaffe ennungi, kubanga sitaani ziyinza okuzibbirira. Mu ngeri endala, bw’olootanga endooto eya sitaani, nayo tokkirizibwa kuginyumya. Ebiseera ebisinga sitaani bw’akuloosa endooto embi, omuli nga okukunakuwaza oba etiisa, (sitaani) aba eyagala amanye oba ddala wanakuwadde oba watidde.
Sitaani agezaako nnyo bwe bukya okukulondoola alabe oba onaanyumya bye waloose. Bw’alaba nga tobinyumya, amanya nti kye yaluubiridde okukunakuwaza oba okukutiisa kyaaganye okutuukirira, era ebiseera ebisinga okusirika okwo Allah ayisizaako ne zitaddayo kukunakuwaza oba okukutiisiza mu ndooto. Kino kiba kiraga nti era bw'olootanga endooto embi n'ogyerabira, togezangako kwekaka nti ojijjukire, kubanga ebiseera ebisinga Allah y'aba agikwerabizza.
Ekirala bw’ozuukuka nga ova mu ndooto eya sitaani, ofujja ku kkono emirundi essatu. Engeri sitaani gye zaagala ennyo oludda lwa kkono - okwawukana ku Allah ayagala ennyo olwa ddyo, sitaani bw’eva mu mubiri ng’ozuukuse, edda ku ludda lwo olwa kkono.

Omumanyi omu yagamba nti okufujja ku kkono, kuba kunyoomoolera ddala sitaani eyo na kugigoba y’eyongerereyo ddala, nga bwe kiri nti n'okufujjira omuntu amalusu kuba kumunyooma.

Oluvannyuma lw’okufujja ku kkono, osaba Allah akuwonye obubi bwa sitaani n’obubi obuli mu ndooto eyo gy’oba oloose, era okiddingana emirundi esatu ng'osoma bw’oti:
[أعُوْذُ بِاللهِ مِنَ الشَّيْطَانِ الرَّجِيْمِ وَمِنْ شَرِّ مَا رَأَيْتُ] ×۳

Enjatuza y’edduwa:

A’uudhu Bi-Llaahi Mina-Syaytwaani-Rrajiim, Wa-Min Sharri Maa Ra-ay’tu x3”.



Amakulu gaayo

Neewogoma ewa Allah amponye obubi bwa sitaani eyakolimirwa, era amponye obubi bw’ebyo bye ndabye”.

Ekyo bw’okikola oba olaga nti singa Allah si kukukwatirako, gwe ng’omuntu tolina busobozi bugoba sitaani n’okuwona ky’eba ekwagaliza. Ekibi ekyo ky’eba ekuloosezza era eba eyagala kikutuukeko.

Bw’oba onaddamu okwebaka, okyusa oludda lw’obadde weebakiddeko ne weebakira ku lulala.

Ekyo okikola olw’ensonga Allah naye akukyusize mu mbeera eyo. Bw’atyo omumanyi omu bwe yakinnyonnyola nga bwe kiri mu kitabo ‘Al-Wiqaayat’ ekya Sheikh Abdu Ssalaam Waheed Baali. Ekisembayo, osobola okusaalayo esswala ya Raaka bbiri bw’oba oyagadde, era ekyo nakyo Allah akiyisizaako sitaani ezo ne zitakukosa.
Eky’okufujja ku kkono kiri mu Hadiithi ya Nabbi (swalla Llaahu alaihi wasallama) eri mu (Swahiih Muslim: Vol 4 Hadiithi No.1772). Ate eky’okusaba Allah akuwonye obubi bwa sitaani n’obubi bw’endooto eyo, kiri mu (Swahiih Muslim: Vol 4. Hadiith No.1773) nabwekityo eky’okusaalayo Raaka ebbiri.

Saagala kugenda nyo mu bya ndooto, ekikulu kiri nti endooto ezimu ziyita ku muzimu gw’oyo aba aloota. Wabula bw’oba weekuumira mu kutya Allah, ofuna obukuumi n’otaloota ndooto za sitaani zikukosa, naye bwe weesuulirayo gwa nnaggamba, oyinza okwesanga mw’abo abatugibwa amajiini mu tulo.


OKUMALIRIZA

Ekitabo kino ekikwata ku ‘Ebifa ku Muzimu’ nsazeewo nkikomye wano. Nsuubira ngezezzaako okunnyonnyola ebintu ebikulu ku nsonga eno. Siyinza kugamba nti byonna mbimazeeyo, wabula nsuubira ebikulu mu byo mbiwandiiseeko. Njagadde nnyo Abasiraamu bamanye ebifa ku kitonde kino, kubanga obutakimanya kwe kuvaako okukisinza ne tutasinza Allah eyakitonda, era obutakitegeera bulungi, kituma abantu okuwakanya amazuukira, anti baba balaba nga bbo gwe bayita omwoyo (omuzimu) tegubandaala 'magombe'. Nsaba Allah ow'ekisa ekingi akinfuulire eky'omugaso ennyo eri Abasiraamu, era akinfuulire Ilimu eringsasa oluvannyuma lw'okufa. Amiina.


EBITABO EBIRALA EBY’OMUWANDIISI

  1. Ebifa ku majiini

  2. Ebifa ku muzimu

  3. Okwejjanjaba eddogo n'ekiiso mu Busiraamu.

  4. Omusiraamu by’ateekwa okumanya nga tannasomerwa Ruqya

  5. Majini katika Uislamu

  6. Mzimu wa mfu (rohani) ni nini?

  7. Kujitibu uchawi na kijicho Kiislamu

  8. Yanayompasa Mwislamu kujuwa kabla hajasomewa Ruq'ya.

  9. Facts about spirits from an Islamic perspective

  10. How sorcery is treated in Islam.

  11. Weeyigirize Hadiithi 500 entuufu. (Kirimu ebitundu10).

  12. Ebigasa Omusiraamu oluvannyuma lw’okufa (part 1-)

  13. Ebigasa Omusiraamu oluvannyuma lw’okufa (part 11).

  14. Okusaalira jeneza mu Busiraamu

  15. Okuziika mu Busiraamu

  16. Okulambula entaana mu Busiraamu okwakkirizibwa n’okwagaanibwa.

  17. Okuwerekera jeneza, okukubagiza n'okukungubaga.

  18. Ensaala y’omulwadde.

  19. Esswala y’ekiro.

  20. Ennaaba ya ‘Janaba’.

  21. Wuzu ya Nnabbi (saw) nga olinga amulaba

  22. Ennyambala y’omusajja Omusiraamu.

  23. Ennyambala y’omukyala Omusiraamu.

  24. Obubonero bw’enkomerero obunene.

  25. Obubonero bw’enkomerero obutono.

  26. Okusala ekirevu kiramulwa kitya?

  27. Okwekuuma sitaani mu maka g’Omusiraamu.

  28. Okunnyonnyola amannya ga Allah amalungi.

  29. Okwewala amazambi g’olulimi 40 (Part 1)

  30. Okwewala amazambi g’olulimi 40 (Part 11)

  31. Ensaala ya Nabbi (swalla Llaahu alaihi wasalla) ng’olinga amulaba.

  32. Olukomera lw’Omusiraamu mu maka ge.

  33. Okugolola ensobi (50) mu sswala ne wuzu (part 1).

  34. Okugolola ensobi (50) mu sswala ne wuzu (part 11)

  35. Okugolola ensobi (50) mu sswala (part 111)

  36. Okugolola ensobi 40 abasiibi abamu ze bagwamu n'ebirala.

37. Ensonga 27 Allah kw’asinziira n’asonyiwa abaddu be ebibi


Yüklə 278,31 Kb.

Dostları ilə paylaş:
1   2   3




Verilənlər bazası müəlliflik hüququ ilə müdafiə olunur ©genderi.org 2024
rəhbərliyinə müraciət

    Ana səhifə