Ebifa ku muzimu


OMUZIMU GWEKUUMIRA NNYO MU LULYO LW'OMUFU



Yüklə 278,31 Kb.
səhifə2/3
tarix26.10.2017
ölçüsü278,31 Kb.
#6564
1   2   3

OMUZIMU GWEKUUMIRA NNYO MU LULYO LW'OMUFU

Twakirabye nti omuntu bw’afa, omuzimu gwe gwekuumira nnyo mu kika ky’omufu oyo. Olw’okuba omuzimu gubeera mu muntu, ate nga omuntu oyo aba n’olulyo mwe yava, nagwo gwetwala nga 'memba' mu kika ekyo. Eky’okuba nga emizimu egimu tegidda mu bantu ne gyogera nabo, ekyo tekitegeeza nti tegibaayo oba nti tegiba mu kika ekyo. Emizimu egyo Abaganda gye bayita ‘mpewo z’ekika’!

Singa omuntu abadde atambulira ku ndagu, bw'afa ebiseera ebisinga omuzimu gwe gumanyi okulagira abantu b’ekika kyu’omuntu oyo okuguzimbira essabo oba okuguteerawo ebigali. Embeera eyo bwetuukanga ku Musiraamu, aba ateekeddwa obutagonderanga ‘sitaani’ ezo.
Era ekyo kiraga obukyamu obuli mu kuwasa oba okufumbirwa omuntu atambulira ku ndagu, kubanga bw’afa omuzimu gwe gusigala guyigganya abatagukolera bye gwagala, ne bwe baba baana ba mufu bennyini.

Wabula singa omuntu afa nga tatambulira ku ndagu, omuzimu gwe tegudda kuyigganya balamu, olumu ne bwe guba nga ssi gwa Musiraamu, kuba mu batali Basiraamu mulimu abatambulira ku bya ndagu, nga bbo shiriki waabwe bamukolera mu birala, omuli okzaaza Allah n'okugamba nti bali basatu!

Singa omwami omufumbo afa n’aleka nnamwandu, nga omufu oyo yali atambulira ku ndagu, olumu omuzimu gwe gutera okusumbuwa nnamwandu oyo nga gwagala 'okwegatta' naye mu nsonga z’obufumbo nga guyita mu kumuloosa. Gwo gusigala gukyamutwala nga mukyala waagwo. Ekyo kyongera okulaga obubi bw’okufumbiriganwa n’omuntu atambulira ku ndagu, kuba kiba kuleeta byokoola waka!
Singa omukyala oyo asalawo okufumbirwa, omuzimu ogwo gumanyi n’okumukuulamu embuto, nga buli lubuto lw’afuna gutuga ekyana nga kyakatondeka. Wabula singa omukyala oyo aba muti wa Allah, Allah bw’aba tayagadde kumugezesa, amuwa obukuumi n’atakosebwa muzimu ogwo.
Singa omuntu yenna omufumbo afiirwako munne n’afuna obuzibu ng’obwo, tasaanidde kukola bya 'kiganda' bye ssaagala kwasanguza wano, wabula aba alina okuyitiriza okwekuumira mu kutya Allah n’okumutendereza ennyo, bwe kiba kyetaagisizza ayinza n’okusomererwa Ruq’ya!
Ekirara singa abafumbo bombi bafa, olumu emizimu gyabwe gisigala nga giri mu 'bufumbo' bwagyo. Nina gwe nnali nsomerera Ruq’ya ne kizuluwa nga omulwadde yali alumbiddwa emizimu ebiri, era Allah bwe yagera ne gyogera, gyalaga nti nga ‘bannyini gyo’ tebannafa, baali bafumbo, nti era oluvannyuma lw’okufa kwabwe gyo gyasigala mu bufumbo bwagyo! Omulwadde oluvannyuma yakakasa nti kituufu ‘abo’ baali ba luganda lwe.
Emabega nnagambye nti emizimu gy’abafu gy’agala nnyo okwekuumira mu lulyo abafu mwe baalinga bava. Kiwanuuzibwa nti emizimu egyo gigezaako n’okulwanyisa amajiini oba emizimu emirala egiba girumbye omu ku bantu b’olulyo olwo. Era kiwanuuzibwa nti ekyo tekyeyawulidde mizimu gya batali Basiraamu gyokka.
Ekintu ekyo sijja kukiwakanya yadde okukikkiriza, wabula ngamba nti bwe kiba kituufu, kuba kugatta ku Allah kintu kirala (shir’k) singa ofuna obuzibu, mu kifo ky’okuwanjagira Allah ate n’osaba mizimu egyo. Kiringa bwe tugamba nti Malayika za Allah zisobola okutaasa omuntu aba alumbiddwa amajiini naye ate ne tutagamba nti kikkirizibwa okuzisaba zitudduukirire. Gwe sabanga Allah yekka, ye alabe w’anaayisa okutaasa kwe.
Ewamu n’okuba nga emizimu gy’abafu gyagala nnyo okwekuumira mu bika by’abafu, naye mingi mugyo egitaagala kuggulawo nkolagana n’abantu abakyali abalamu mu bika ebyo oba n'abantu abalala. Kino kizingiramu egy’Abasiraamu n’egitali gy’Abasiraamu. Abatali Basiraamu, amazima gali nti mubo mulimu abatatambulira ku bya ndagu, nga shir’ki waabwe alabikira mu birara; ng’okusinza ebifanaanyi oba ebitonde ebirala, omuli Nabbi Isa, maama we Maliyamu n’abo be bayita ‘Abatuukirivu'!

EMIZIMU GYEKUUMIRA NNYO KU BISIGALIRA BY’OMUFU
Eky’okuba ng’emizimu gyagala nnyo okwekuumira mu bika by’abafu, tekijjaawo kigamba nti era gyagala nnyo n’okwekuumira ku bisigalira by’omufu oba ku kintu kyonna ekiba kirina akakwate n’omufu, nga engeye ze n’ebirala. Abantu bangi tebamanyi nti ebisolo, ebinyonyi n’ebiwuka nti nabyo biba n’emizimu ng’abantu.

Ekituufu kiri nti buli kitonde ekirina omwoyo era kiba n’omuzimu.


Singa omuntu afa, kye kimu aziikiddwa oba taziikiddwa, wonna awaba ebisigalira bye, era we watera okwekuumira omuzimu gwe. Ekyo kye kivaako abantu abamu abattirwa ne batamanyibwa mafiire gaabwe emizimu okulinnya ku mitwe gy’abantu baabwe abalamu, oba ne gibaloosa nga gibalagirira awali ebisigalira ebyo.
Wabula emizimu gy’abo abatatambulira ku ndagu, ne bwe baba ‘banyinigyo’ tebaabaziika, tegisoobola kudda kukwata balamu kubalaga wali bisigalira. Era kikolwa kya kkivve nnyo mu Busiraamu okusamira oba okugenda mu ‘basawo’ nti bayite omuzimu gw’omufu, oba ne beeyambisa egyabwe oba amajiini gaabwe nti gikulagirire ewali omufu waabwe.

Olumu emizimu gikwata abantu ne gibategeeza nti ‘ndi eno empewo enfuuwa n’enkuba enkuba mujje munziike’! Ekituufu empewo ekunta teyinza kufuuwa ‘mpewo’ ya muzimu, wabula gyo giba gyagala abantu baziike ebisigalira ebyo!

Ewamu n’ekyo, singa embeera eyo eba ebaddewo omuzimu gw’omufu ne gubalagirira awali ebisigalira by’omufu, era ne mwekakasa nti ddala ebyo bye bisigalira by’omufu, tekigaana kuziika mufu oyo. Ekyo mukikola lwa kussa mu nkola enjigiriza y’OBusiraamu ey’okuziika abafu, wabula si lwa kuba muba mulagiddwa omuzimu.
OKUTUULA KU MALIBA G’EBISOLO EBIKAMBWE TEKIKKIRIZIBWA

Olw’okuba n’ebisolo nabyo biba n’emizimu, era nagyo okufanaanako n’omuntu singa ekisolo kifa omuzimu gwakyo gwagala nnyo okwekuumira awali ebisigaalira byakyo. Ekyo nga bwe kiri ku muntu era bwe kiri ku nsolo, era bwe kiri ne ku binyonyi ne ku biwuka.

Singa ekisolo ekifudde kibadde kikambwe, era n’omuzimu gwakyo guba mukambwe, era ne ku muntu bwe guli ne ku bitonde ebirala. Ekyo kitegeeza nti singa ekisolo ekikambwe kifa, okweriraanya awali ebisigalira byakyo si kirungi, olw’ensonga oyinza okulumbibwa omuzimu gwakyo omukambwe.
Abasawuzi baagala nnyo okukuumira amaliba g’ebisolo ebikambwe mu masabo gaabwe, nga ag’engo, empologoma, ttimba n’ebisolo ebirala. Ekitufu kiri tebabikuumiramu lwa kwagala kutiisa ‘balwadde’ baabwe kyokka, wabula baba bakuumiramu n’emizimu gy’ebisolo ebyo. Ewamu n’ekyo, abasawuzi bangi abakola ekintu ekyo, naye nga bbo tebamanyi nsonga ebateesa maliba ago mu masabo gaabwe. Bbo bagassaamu lwa kuba ‘empewo’ zaabwe oba amajiini gaabwe gaba gabalagidde, naye nga tegababuulidde kyama kikirimu.

Nga bw’olaba nti omusawuzi akuwa ‘akati’ oba ‘akabugo’ naye nga takubuulidde nti mulimu ejjiini, n’amajiini nago galina bye gakozesa abasawuzi naye nga tegababulidde nsonga. Okutegeera obulungi engeri amajiini gye gakozesaamu emizimu gy’ebisolo, tugenda kweyambisa eky’okulabirako kino wammanga.


Kimanyiddwa bulungi nti omuyizzi w’ebisolo yeeyambisa mbwa mu kuyigga.Mu ngeri y’emu era ekituufu kiri nti n’omusawuzi yeeyambisa majiini mu kusawula. Mu ngeri endala, abantu kye batamanyi kwe kuba nti n’amajiini olumu nago geeyambisa mizimu gya bisolo bikambwe mu kulumba abantu oba okulumba emizimu emirumbaganyi. Emizimu gy’abantu olw’okuba giba gitegeera, giba gisobola ‘okulunda’ egy’ebisolo ebitategeera nga n’omuntu bw’abirunda nga biramu.

Ow’okuba amajiini geeyambisa emizimu gy’ebisolo ebikambwe, ate ng’emizimu egyo gibeera ku bisigalira (nga ku maliba ), amajiini kye gava galagira abasawuzi bateekenga amaliba g’ebisolo ebyo mu masabo gaabwe. Ekyo kitegeeza nti tekiba kirungi muntu kutuula ku maliba g'ebisolo ebikambwe.


Olw’okwewala okulumbibwa emizimu gy’ebisolo ng’ebyo, oba oli awo nga Omubaka wa Allah, Nabbi Muhammad (walla Llaahu alaihi wasallama) kye yava agaana abantu okutuula ku maliba g’ebisolo ebikambwe.
Swahaba ayitibwa Abul-Maliihi (Allah amusiime) yanyumya Hadiith gye yajja ku kitaawe n’agamba nti:
عَنْ أَبِي الْمَلِيْحِ رَضِيَ اللهُ عَنْهُ قَالَ: [نَهَى رَسُوْلُ اللهِ صَلَّى اللهُ عَلَيْهِ وَسَلَّمَ عَنْ جُلُوْدِ السِّبَاعِ]. (رَوَاهُ أبُوْ دَاوُدَ).
Omubaka wa Allah (swalla Llaahu alaihi wasallama) yaziyiza amaliba g’ebisolo ebikambwe”. Soma ( Sunan Abu Dauda) .
Omubaka wa Allah (swalla Llaahu alaihi wasallama) okuziyiza amaliba g’ebisolo ebikambwe, yali aziyiza kugatuulako, kubanga mu njogera ya Hadiithi eno endala eri mu kitabo kya Imaam Tir’midhi, Swahaba y’omu yagamba bw’ati:
عَنْ أَبِي الْمَلِيْحِ رَضِيَ اللهُ عَنْهُ قَال: [نَهَى رَسُوْلُ اللهِ صَلَّى اللهُ عَلَيْهِ وَسَلَّمَ عَنْ جُلُوْدِ السِّبَاعِ أنْ تُفْتَرَشَ]. (رَوَاهُ التِّرْمِذِيُّ).

Omubaka wa Allah (swalla Llaahu alaihi wasallama) yaziyiza okweyalirira amaliba g’ensolo enkambwe”. Soma (Sunan Tir’midhi).

Wabula ne bwe kitaba kugatuulako, ekituufu kiri nti n’okugatimba, okugambala oba okugakolerako ebintu ebirala ebisembeza emizimu we tuli tekiba kituufu, singa tuba tutunuulidde mulamwa gwa Hadiith.

OKUKWATA OMUZIMU GW'OMUNTU

Nga mpandiika ku muzimu, kyetaagisa okunnyonnyola abasomi ku nsonga y'okukwata omuzimu. Abaffe kisoboka oba tekisoboka? Ye bwe kiba nga kisoboka, kikolwa kitya? Ye abaffe kikosa omuntu oba tekimukosa? Bwe kiba nga kimukosa, kyewalibwa kitya? Ensonga ezo ze ngenda okunnyonyola wammanga.


Okusookera ddala njagala okujjukiza abasomi nti omuzimu kika kya majiini. Engeri gye kiri nti amajiini ziba mpewo, kiba kitegeeza nti n'omuzimu nazo ziba mpewo. Olw'okuba teri muntu asobola kukwata mpewo, kitegeeza nti era teri muntu nga yye asobola kukwata muzimu.

Ewamu n'ekyo, go amajiini ku majiini gasobola bulungi okukwatagana. Engeri gye kiri nti emizimu kika kya majiini, era kiba kitegeeza nti n'amajiini gasobala okukwata omuzimu n'omuzimu gusobola okugakwata. Nga tumaze okulaba nti gasobola okukwatagana, ekibuuzo ekiddako kiri nti, ekyo kisoboka kitya?

Ekituufu kiri nti ekyo kisoboka mu mbeera bbiri:


  1. Nga omuntu yeebase

  2. Oba nga amaze kufa.

Okwebaka n'okufa kumpi bifaanagana, kubanga Omubaka (swalla Llaahu alaihi wasallama) otulo yatuuka n'okukuyita 'muganda' w'okufa. Singa omuntu yeebaka oba n'afa, omuzimu gwe gusigala gwetengeredde okuva ku muntu oyo. Ekyo kye kivaako n'okuba nga omuntu okuloota amala kwebaka. Endooto omuntu z'aloota ziyita ku muzimu gwe nga bwe tunaalaba mu maaso, okujjako endooto evudde ewa Allah oba ey'okulogojjana. Endooto evudde ewa Allah eyita ku mwoyo gwa muntu, ate ey'okulogojjana ekoma ku mimwa gy'oyo aba alogojjana.
Omusawuzi asobola okutuma amajiini g'aba akozesa ne gakwata omuzimu gw'oyo aba yeebase oba aba yafa edda, wabula tegasobola kukwata gw'oyo ateebase oba atannafa. Gagukwata ne gagutwala ew'omusawo ne gagwogeza bye gaba gaagala.
Mu kwogera kwagwo, ebiseera ebisinga guba gwogerera mu bbanga wabula waliwo ne lwegwogerera ku muntu. Gali amalumbaganyi gagukaka ne gulinnya ku mukongozzi wa mukama waago. Omukongozzi ye muntu ayogererwako amajiini, emizimu oba ze bayita empewo z'ekika olw'okutuusa obubaka eri abo be kiba kikwatako. Wabula enkola eno evumirirwa nnyo mu Busiraamu olwa shiriki agibaamu.
Omuzimu guba gumanyi buli kyama ky'oyo kwe gwatondebwa. Wabula singa Allah agera ne guba nga mu maanyi gusinga amajiini agaba gagulumbye oba Allah n'aba ng'aguwadde obukuumi obw'enjawulo, amajiini ago amalumbaganyi gaba tegasobola kuguwamba.

Amajiini bwe gawamba omuzimu ogwo, omuntu kwe guba tasobola kuzuukuka nga tegunnateebwa.


Abaganda kye baagamba nti omuzimu gw'omulamu tegusamirirwa, baali bategeeza nti ogw'omufu gwe gusamirirwa! Ne wankubadde mu Busiraamu ekyo kikolwa kya shiriki, naye tufunamu eky'okuyiga nti omuzimu gw'omuntu omulamu (atali mufu oba ateebase) tekisoboka kwogerezaganya nagwo, era ekyo kye kyavaako n'okuba nga tegusobola kukwatibwa.

Olw'ensonga eyo mpunzika nga ngamba nti, kituufu omuzimu gusobola okukwatibwa mu mbeera ezo ezimenyeddwa.


Wabula singa omuzimu gw'omuntu gukwatibwa ne guttibwa, omuntu kwe guba gwatondebwa naye aba afiirawo mu kiseera ekyo. Omuzimu gw'omuntu omulamu tegusobola kufa omuntu kwe guba n'asigala nga mulamu.

Buli kabi akagutuusibwako kaba kakosa omuntu oyo. Era ne bwe guba nga teguttiddwa nga gubonyabonyezeddwa bubonyabonyezebwa, era nyinigwo akosebwa nnyo, era ekyo akiwulirira mu mubiri gwe nga teguliimu maanyi n'akatono. Ekyo abamanyi kye baagamba hti akamu ku bubonero obulaga nti olumbibwa amajiini, kwe kuggwebwamu amaanyi awatali nsonga etegeerekeka.


Omuntu okuwona ebizibu by'okuwambibwa kw'omuzimu gwe, ateekwa okuba nga yeekuumira nnyo mu mbeera y'okutya Allah, wabula bw'amala okufa, gwo omuzimu gwe guba gulina okwekuumira mu mbeera eyo. Obukuumi Allah bw'awa omuntu ng'akyali mulamu, omuzimu gwe gubugabanako kyenkanyi nga akyali mulamu, kubanga obulumbaganyi bw'amajiini ku muntu ebiseera ebisinga buyitira ku muzimu gwe.
OMUZIMU OKULULUMA

Abaganda balina kye bayita 'okululuma'. Okululuma kitegeeza omuzimu gw'omufu 'okudda' eri abalamu ebiseera ebisinga ne gubatawaanya. Tujja kukiraba mu kitabo kino nti buli kitonde ekirina omwoyo kiba n'omuzimu. Okugeza omuntu, ekisolo, ekinyonyi n'ekiwuka byonna birina emizimu.


Olw'okuba ebitonde ebyo byonna biba n'omuzimu, edda Abaganda bwe baabanga basala endiga baagikubanga 'kabazzi' ku mutwe nga kati abamu bwe bakyakola ku mbizzi. Baawanuuzanga nti bw'otokola bw'otyo omuzimu gwayo guba gujja kululuma. Wabula yali omu ku Bakabaka ba Buganda eyadibya enkola eno olw'obutaagala kulumya bisolo. Soma ekitabo 'Empisa za Buganda' ku nsonga y'emizimu, ekyawanadiikibwa Sir. Apollo Kaggwa.
Era Abaganda balina olugero olugamba nti 'akafa omukkuto tekaluluma'! Mukyo baali bategeeza nti singa omuntu afa olw'omukkuto nti omuzimu gwe tegudda mu bantu!

Ekituufu emizimu egidda mu bantu gikomawo lwa nsonga ndala, wabula si lwa kuba bannyini gyo tebakkutanga mmere! Omuzimu gw'omuntu eyali tatambulira ku ndagu tegusobola kudda mu bantu, era enneeyisa eyo guba gwagikoppa ku 'mukama' waagwo oyo aba yafa. Buli lw'olabanga omuzimu gw'omufu nga 'gukomyewo' ate nga yali amanyiddwa nga atambulira ku ndagu, ekyo kivvuunulwa mu ngeri bbiri:



  1. Olumu guba muzimu gwa muntu mulala oba liba jjiini nga byagala okubaseereza.

  2. Oba nga omufu oyo mwali temumanyi bumanya nti atambulira ku ndagu naye nga yali azitambulirako.

Ekirala Abaganda bawanuuza nti nga oyagala omuzimu gw'omusajja omufu guleme kudda kutawaanya nnamwandu, nti oddira olugoye olw'omukisenge (enkumbi) n'oluziika ku ntaana ya bba nga mumaze okuziika, n'olaamiriza nga ogugamba nti 'naawe tukuziise toddanga kutawaanya nnamwandu'!


Enkola eyo nkyamu mu Busiraamu, kubanga ekirina okukolebwa singa omuzimu gutawaanya nnamwandu, kuba yye kwekuumira mu kutya Allah oba bwe kiba kyetaagisizza n'asomerwa Ruq'ya.

Mu kuziika omugenzi Nelson Mandela, abataka okuva mu kika kye beemulugunyiza Gavumuenti ya South Africa okubalemesa okuziika omuntu waabwe mu biseera enjuba w'ebeerera mu makkati g'eggulu (mid-day)! Baagamba nti baali baagala kumuziika mu budde obwo kisobozese omuzimu gwe obutaluluma! Bino byalabikira mu Lupapula lw'amawulire olwa Bukedde lwe nneerabidde ennaku z'omwezi.


Kino kyayongera okunkakasa lwaki ddala Omubaka (swalla-Llaahu alaihi wasallama) yatuziyiza okuziika abafu mu kiseera nga enjuba eri mu makkati g'eggulu. Yakitugaana kubanga yayagala twawukane ku Bashiriku bbo abaziikira mu kiseera ekyo nga bwe balaamiriza eri emizimu gy'abafu.

Ekituufu ekyo tekiremesa muzimu gwe kululuma wabula ekigulemesa ky'ekyo kye nnyinyonyodde waggulu. Nakiraze emabega nti omuntu ne bw'ataba Musiraamu, omuzimu gwe guyinza 'obutadda' singa aba yali tatambulira ku ndagu. Era nakiraze nti mu bantu abo mubaamu abatatambulira ku ndagu nga bbo shiriki waabwe alabikira mu birala, nga okusinza ebintu ebirala ebitali Allah, omuli Issa (alaihi-ssalaaamu), Mariyamu (maama we) n'abo be bayita abatuukirivu.

Nga nva ku nsonga eno, nkubira Abasiraamu omulanga nti nga baagala emizimu gyabwe gireme kudda mu bantu (okululuma), beewale okutambulira ku ndagu emizimu gyabwe gisobole okubakoppako enneeyisa eyo ennungi nga bamaze okufa.

Okulowooza nti bwe banaalya ne bakkuta nti ekyo kye kiritangira emizimu gyabwe obutadda, eyo ntegeera etatuukana na kutegeera kutuufu! Mu ngeri y'emu okuddira 'enkumbi' ne ziziikibwa mu ntaana za babba bannamwandu, ekyo nakyo tekijja kulobera mizimu egyo kudda. Kw'ebyo yongerako okuziika abafu ku ssaawa omukaaga n'ebirala Abashiriku bye bakola ku bafu baabwe. Ekijja okulobera emizimu egyo obutadda ky'ekyo kyokka kye nnyinyonnyodde waggulu.



ENSIBUKO Y’OBUTASINZA ALLAH KWALI KUSINZA MIZIMU

Ekituufu kiri nti omulembe gw’abantu abaasookera ddala okuva ku kusinza Katonda omu (Allah), baasookera ku kusinza mizimu gya bafu, era ensonga eyo Quraani egikakasa bulungi.


Wabula nga sinnaba kunnyonnyola nsonga eno, ka tusooke tunnyonnyoke bino wammanga.

Wakati wa jajjaffe Adam ne Nnabbi Nuuhu awo waaliwo ebyasa kkumi nga gy’emyaka lukumi (1000), era ensonga eyo Swahaba Ibn Abbaas (Allah amusiime) ye yaginnyonnyola nga bwe kiri mu (Swahiih Bukhaar).

Wabula wakati wa Adam ne Nnabbi Nuuhu, ekituufu waaliwo ebikolobero ebyali bikolebwa, nga mwe mwali mutabani wa Adam, Haabiilu bali gwe bayita Abel okutta mugandawe, Qaabiilu bali gwe bayita Cain. Ewamu n’ekyo, ekyo Allah teyakisinziirako kutuma Babaka.

Wabula abantu bwe baatandika okusinza ebitonde (emizimu), Allah kwe kusalawo atume Nnabbi we eyasooka mu nsi. Nabbi eyaasoka okutumwa mu nsi yali Nuuhu bali gwe bayita Noah (soma Nowa). Mu Hadiithi entuufu Nabbi Muhammad (swalla Llaahu alaihi wasallama) yagamba nti:


"أَوَّلُ نَبِيٍّ أُرْسِلَ نُوْحٌ".(رواه البخاري).

Nabbi eyasooka okutumwa yali Nuuhu”. Soma (Swahiih Al-Bukhaar).

Allah yagamba mu Quraani nti:
[وَقَالُوْا لاَ تَذَرُنَّ وَدًّا وَلاَ سُوَاعًا وَلاَ يَغُوْثَ وَلاَ يَعُوْقَ وَنَسْرًا ]. (سُوْرَةُ نُوْحٍ : آيَة۲٥).

Era (Abawalabu) baagamba nti: Temuleka (balubaale bammwe, nga) wadda, yadde suwa, yadde yaguutha, yadde Ya’uuqa yadde Nas’ra”.Soma ( Suraat Nuuh: Aya 25).


Amannya ago agali mu Aya eyo, gaali mannya ga bantu abaali abalongoofu abaafa ku mulembe gwa Nnabbi Nuuhu. Oluvannyuma abantu baatandiikiriza mpolampola okubasinza okutuusa Abawalabu amannya ago lwe baagabbula mu balubaale baabwe be baali basamira. Ekyo kiba kiraga nti entandikwa y'abantu okutandika okusinza ebintu ebirala ebitali Allah, baatandikira ku mizimu gya bafu.
Swahaba Ibn Abbaas (Allah amusiime) bwe yali avvuunula Aya eyo waggulu, yagamba bwati:
[هَذِهِ أسْمَاءُ رِجَالٍ صَالِحِيْنَ مِنْ قَوْمِ نُوْحٍ، فَلَمَّا هَلَكُوْا أوْحَى الشَّيْطَانُ إلَى قَوْمِهِمْ أنِ انْصِبُوْا إلَى مَجَالِسِهِمْ الَّتِيْ كَانُوْا يَجْلِسُوْنَ فِيْهَا أنْصَابًا، وَسَمُّوْهُمْ بِأسْمَائِهِمْ فَفَعَلُوْا، وَلَمْ تُعْبَدْ حَتَّى إذَا هَلَكَ أوْلَئِكَ وَنُسِيَ العِلْمُ عُبِد َتْ". (رَوَاه البُخَارِيُّ).

Ago mannya ga bantu abaali abalongoofu ku mulembe gwa (Nabbi) Nuuhu. Bwe baamala okufa, sitaani yaweereza obubaka bwayo eri abantu baabwe n’ebagamba nti: Musimbe amasenemu mu bifo byabwe bye baatulangamu (mu masinzizo), era mugabbule mu mannya gaabwe era ne bakikola. Wabula tegaasinzibwa okutuusa nga omulembe gw’abo (abaakikola) gumaze kusaanawo. Okumanya bwe kwerabirwa olwo abaddako ne bagasinza”. Soma (Swahiih al-Bukhaar).

Ibn Abbaas (Allah amusiime) kye yagamba nti, 'okumanya bwe kwerabirwa' yali ategeeza nti abantu abajja oluvannyuma lw’abo abaakola ekintu ekyo mu mutima ogutaali mubi, bbo tebaamanya kigendererwa kya bali abaasooka.
Olw’ensonga eyo nange ngamba nti ekyagwa ku bantu abo, era kye kyatuuka kumpi mu buli kitundu kya nsi omuli abantu abasinza ensinza ‘y’obujjajja’- omuli n’e Buganda.

Eyali Katikkiro wa Buganda, Sir. Apollo Kaggwa (1824-1926 AD), mu kitabo kye ‘Empisa za Buganda’ kye yawandiika mu ntandikwa y’ekyasa ekiwedde (1900), yalaga nti okusinza mu Buganda kwali kwa kusamira. Yanokolayo balubaale mu Buganda abasamirwa, omwali Mukasa, Kibuuka n’abalala! Yawunzika n’agamba nti ‘balubaale ba Buganda abo, baali bantu’!

Ekyo kikakasa ekigamba nti abantu okuwuguka ne bava ku kusinza Omutonzi (Allah), baawugukira ku kusinza bafu (mizimu). Ekibuuzo kigamba nti, lwaki abantu basinza bitonde binnaabwe ne baleka eyabitonda (Allah)?
Abawalabu Abakaafiiri okwanukula ekibuuzo ekyo bbo baagamba nti, bbo ssi bye basinza, nti wabula byo bibatuusiza butuusiza bwetaavu bwabwe eri Katonda (Allah)! Soma (Suurat 10: Aya 18). Baayogerera ddala ng’Abaganda Abashiriku kati bwe bagamba nti bbo newankubadde basamira, nti mu kusamira bakakasa nti Katonda gy’ali mbu naye okusamira, baba baagala emizimu gibatuusize byetaago byabwe eri Katonda.
Ekibuuzo ekiddako kiri nti, dala emizimu ne Katonda ani ali okumpi n’omuntu? Ekituufu kiri Katonda (Allah) y’ali okumpi n’omuntu okusinga emizimu n’okusinga buli kintu kyonna. Soma (Suurat Al-Baqara: Aya 186), (Suurat al-Waaqi’a: Aya 85), ne (Suurat 17: Aya 57). Olw’okuba Allah ali kumpi n’omuntu, kitegeeza tewaba bwetaavu kuyisa bwetaavu bwo mu kitonde kyonna, k’abe Nabbi, malayika oba amajiini. Era bw’okikola oba okoze ekintu ekikontana n'okwawula Allah (Taw'hiidu).

Ekituufu kiri nti emizimu tegyogera na Allah, era ffe Abasiraamu ne bwe tuba tusaba Allah, tetulina kuyita mu kitonde kyonna, nga bwe tunaakiraba mu maaso eyo in-sha-Allah.

Abantu abasinza ebintu ebirala ebitali Allah, ng’emiti eminene, okugeza (Nakayima), oba ennyanja, okugeza Nalubaale ne Wamala n’ebirala, ebintu ebyo babituuma mannya ga mizimu gya bafu! Bakolera ddala abantu abaasooka kye baakola Allah n’akisinziirako okutuma Bannabbi. Bw’otunuululira lubaale Mukasa, ekituufu kiri nti Mukasa yali muntu, ng’abeera Bukasa, era kitaawe yali ayitibwa Wannema!

Bw’odda ku Kibuuka (Omumbaale), ono naye yali muntu, era yali mutabani wa Mukasa nga mu kusooka yali ayitibwa Kyobe nga bajjajjaffe tebannawanuuza nti yalwanira mu bire ng’alwanagana n’Abanyolo e Mbaale mu Mawokota!

Ennyanja Wamala eri mu Ssingo, nayo lubaale mu Buganda era nayo bagisamira, so nga Wamala yali muntu. Omuti ‘Nakayima’ abantu gwe basamira, naye yali muntu era yali muka Nduhuura eyali omu ku bakabaka ba Bachwezi! Bino byonna byongera okukkaatiriza, nti abantu okuwuguka ne bava ku kusinza Allah, baawugukira mu kya kusinza mizimu gya bafu.
Kya nnaku nti jjajjange yabbula kitange mu 'Mukasa'! Era kya nnaku nti nange nabbulwa mu 'Kibuuka'! Bakadde baffe okutuuma amannya ago, tekitegeeza nti baali basamize, wabula baali tebaafuna kunnyonnyolwa kulungamu ku nsonga eno. Nsaba Allah atusonyiwe nabo abasonyiwe.

Kya mu Busiraamu okwejjako amannya ng’ago era nze njakusigala nga ‘Kibuuka’ ndiwandiikira mu ‘inverted commas’ okulaga obutali bumativu, nga bw’olaba ku ddiba ly’ekitabo kino n’ebitabo byange ebirala.

Eky'okulabirako, Swahaba ayitibwa Abu Huraira (Allah amusiime) yali tannasiramuka ng’ayitibwa Abdu-Sham’s ekitegeeza 'omusinza w’enjuba'. Bwe yamala okusiramuka, Nabbi (swalla Llaahu alaihi wasallama) yamujjako erinnya eryo n’amutuuma Abdu-Rrah’man ekitegeeza 'omusinza wa Allah'.

Ekyo kitegeeza nti tuteekeddwa okukyusa amannya amabi, ne bwe tuba nga ebibi ebigagenderako tetubikolerako. Okumanya okukyusa amannya amabi kikulu nnyo mu Busiraamu, Omubaka (swalla Llaahu alaihi wasallama) yakyusanga n’amannya g’ebitundu amabi n’abituuma amannya amalala nga bwe nnakiraga mu kitabo kyange 'Weeyigirize Hadiith 50 Entuufu, part 4’.

Omulamwa omukulu ku nsonga eno, kubadde kulaga nti mu byafaayo by’obuntu, abantu abaasooka okuwuguka ne bava ku kusinza Katonda omu (Allah), baasooka kusinza mizimu gya bafu wano e Buganda ze bayita empewo z’ekika. N’olwekyo enkola eyo tuteekeddwa okugyesamba ne bwe tuba mu bizibu eby’amaanyi, omuli obwavu, endwadde n'ebirala.


Yüklə 278,31 Kb.

Dostları ilə paylaş:
1   2   3




Verilənlər bazası müəlliflik hüququ ilə müdafiə olunur ©genderi.org 2024
rəhbərliyinə müraciət

    Ana səhifə